Psalms 144

Zabbuli ya Dawudi.

1 aAtenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
atendeka emikono gyange okulwana,
era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 b Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

3 cAyi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 dOmuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

5 eYawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 fMyansa abalabe basaasaane,
era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 gOgolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 hab’emimwa egyogera eby’obulimba,
abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

9 iAyi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 jggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 kNdokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 lBatabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 mAbantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Copyright information for LugEEEE